Amawulire

UPDF yaakusigala mu DR-Congo ebbanga eritali ggere

UPDF yaakusigala mu DR-Congo ebbanga eritali ggere

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Amagye gegwanga aga UPDF gaakusigala munda mu gwanga ya DRCongo, okugenda mu maso nebikwekweto byebatandise ku bajamabula aba Allied Democratic Forces, byebatandise ku lunnaku Lwokubiri.

Amawulire galaze nti aamagye ge gwanga aga UPDF nga bali wamu namagye ga DRC, balumbye enfo omugambibwa okwekukuma abajambula ku Lowkubiri mu Buvanjuba bwegwanga.

Mu bulumbaganyi buno babadde balubiridde omuddumizi wa ADF Musa Baluku.

Omwogezi wamagye gegwanga Brig Gen Flavia Byekwaso akawungeezi akayise agambye nti tasobola kukakasa ddi amagye ga UPDF lweganaava mu Congo kubanga omulimu gwebaliko gulina okusooka okuggwa, okumalawo abayekera era abatujju.

Obukulembeze bwa gavumenti ya Uganda e Kampala, bamatizza banaabwe abe Kinshasa okuyingira mu gwanga lyabwe balwanyise aba ADF abekweseeyo, nga gavumenti ya Uganda ebadde egamba nti eyo gyebasinziira okujja okukola ebikolwa ebykitujju nobutemu ku Uganda.

Kino kyadiridde obulumbaganyi bwa bbomu ezomudiringanwa obukoleddwa ku gwanga gyebuvuddeko.