Amawulire

UPC esabye abakkiriza okwegayirira Katonda ku lunaku lwábajjulizi ku lwensi eno

UPC esabye abakkiriza okwegayirira Katonda ku lunaku lwábajjulizi ku lwensi eno

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya Uganda People’s Congress kisabye abakkiriza okweyambisa okulamaga kwomulundi guno okwegayirira katonda avunusse eggwanga lino okusomoozebwa kwe byenfuna kweririmu.

Bino byogeddwa omwogezi wékibiina kya UPC Sharon Oyat mu kwogerako ne bannamawulire olwaleero ku kitebe kye kibiina mu kampala.

Ono agambye nti embeera Uganda gyeyetitamu mu kiseera kino omuli ebeeyi ye bintu ebyekanamye, okunabuuka kwa siringi nókusoomoza okulala byetaaga katonda yenyini okutaasa bannauganda kuba gavt yategeeza nga bwetalina kya kudamu.

Kino kidiridde okwogera kwomukulembeze weggwanga okusembyeyo okutegeeza nga bwewatali kyakukolera ku paluuka kwa beeyi ye bintu nasaba bannauganda okuyiga okukekereza oba okwesonyiwa bye batasobola okwetuusako.