Amawulire

UNEB yatandise okwetegereza ebifo omukolerwa ebigezo

UNEB yatandise okwetegereza ebifo omukolerwa ebigezo

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board kitegezezza nga bwekitandise okuddamu okwekennenya ebifo omukolerwa ebigezo oba Examination Centers, okuzongerako nendala okuzigaziya.

Kino kyadiridde amasomero agamu okufuna abayizi, omuwendo ogusukiridde, oluvanyuma lwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Kinajjukirwa nti ekitongole kya UNEB kyatandise ku ntekateeka zokuwandiika abayizi, abankola ebigezo byakamalirizo, ebisubirwa okutandika mu mwezi gwa Okitobba.

UNEB egamba nti baatadise okwetegereza ebifo ebikolerwamu ebigezo, nga 7 February era esubirwa okukomekerzebwa nga 14 April.

James Turyatemba, akulira ebyebigezo mu UNEB agambye nti baakakasa ebifo omutwalo 1 mu 4,371 nga kuliko ebifo ebippya 58.

Agambye nti bataddewo tiimu ezikola omulimu guno, ezirambula amasomero, nebifo bino okwetegereza embera gyegalimu.

Ebimu ku bitunuliirwa kuliko essomero okubeera nabasomesa abamala, amekebejjezo oba laboratory, ebibiina ebimala era litekeddwa okubeera nga lyawandisbwa mu mateeka.