Amawulire

UNEB ewabudde abazadde okukubiriza abayizi okufuna NIN namba

UNEB ewabudde abazadde okukubiriza abayizi okufuna NIN namba

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ekitongole ekivunanyiizbwa ku bigezo mu gwanga ekya uneb kiwadde bazadde b’abaana abali mu siniro ey’okusatu n’okudda wansi okufuba okuwandiisa abaana babwe okufuna enamba elabikira ku ndaga muntu ye emanyiddwa nga NIN number okwewala okutataganyizibwa ng’ekiseera ekikola ebigezo ebisemba ebya siniya ey’okuna nga tekinatuuka.

Ministry y’eby’enjigiriza yatongoza enambika y’ebisomesebwa empya mu mwaka gwa 2020 ng’essira eriteeka ku kwasisa bayizi bukodyo bwa mumutwe okwawukana n’enkadde eyagenderera nga okusomesa abayizi okuyita ebigezo.

Abayizi abali mu siniya ey’okusati, bebagenda okutuula ebigezo ebijja wansi w’enteekateeka eno bwebanaaba batula siniya ey’okuna omwaka ogujja.

Kati Peter wakabi akulira ebya technology ku UNEB agamba nti abazadde bandikozeseza omukisa gw’oluwummula okwewala okutataganyizibwa.

Wakabi agamba nti okwewandiisa okufuna NIN kuno kwabwereere okwetolola eggwanga lyonna.

Agamba okwewandiisa osobola okukukola ngoyita ku mukutu gw’omutimbagano oba okugenda ku kitebe kya nira wonna wekiri okwetoloola eggwanga.

Akikatirizza ng’amasomero aganakola entegeka ewandiisa abayizi baago, galina okuba nga gewandiisa era negawebwa Education Management Information System number.