Amawulire

UNEB erabudde ku bubbi bwébigezo

UNEB erabudde ku bubbi bwébigezo

Ivan Ssenabulya

November 7th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board (UNEB) kyongedde okulabula abasomesa n’abakuumi b’ebigezo obutagezaako kwenyigira mu kukopera bayizi bigezo kubanga anakwatibwako wakukangavulwa nga besigama kuteeka erifuga ebigezo erya UNEB act 2021

Sabiiti eno abayizi aba p7 bakukola ebigezo byaabwe ebyakamalirizo ebya Primary Leaving Examinations (PLE) nga nga batandika nakigezo kya kubayisizaamu Briefing ate aba senior eyomukaaga nabo batandike ebyaabwe ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE)

Aba Senior six bakutandika nga 13th November to December 1st 2023.

Bwabadde ayogerako eri abamawulire ku Media Centre, akulira ekitongole ky’ebigezo muggwanga Dan Odong asinzidde wano nalabula ababadde batandise okutunda ebibuuzo ate nga byabiccupuli

Nabukenya Rose Mukasa akulira ebigezo bya bya PLE mu UNEB bino yabinyonnyonyodde mu luganda

Abayizi emitwalo 74 mu 9397 bebawandisibwa okutuula ebigezo byekibiina ekyomusanvu omwaaka guno okuva mu senta eziwerera ddala omutwalo gumu mu 4,442 okwetoloola eggwanga lyona

Kumulundi guno abaana abobuwala bali 391,558 ate 357,789 babulenzi.