Amawulire

UNBS eyongedde okunyumyula mu biragiro ku Kasooli atundibwa ebweru

UNBS eyongedde okunyumyula mu biragiro ku Kasooli atundibwa ebweru

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo muggwanga ki UNBS, kinywezezza ebiragiro ku byokukebera kasooli, atwalibwa ebweru w’eggwanga okwetoloola ggwanga.

Aba UNBS abavunaanyizibwa ku kukulaakulanya, okutumbula n’okussa mu nkola omutindo gwébintu bagamba nti enteekateeka eno etunuulidde okukuuma omutindo gw’ebyobulamu mu mmere.

Sylvia Kirabo, omwogezi wékitongole kino, agamba nti ebisaanyizo 12 bilambikiddwa omuli n’okuzuula ekifo loole ettise kasooli atwalibwa e bweru welina okuyimirira okwetegerezebwa.

Nga May 15th, ku nsalo ya Uganda e Nimule, loole 62 ezaali zitikkiddwako kasooli, akawunga ebijanjaalo n’eŋŋaano ebyali bigenda e South Sudan zagaanibwa okuyingira ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo mu South Sudan oluvanyuma lwokwekebejebwa ne bazuula nga tebiri ku mutindo nga muli ekirungo kyobutwa.