Amawulire

UNATU yakusalawo ku byakediimo ku Sunday

UNATU yakusalawo ku byakediimo ku Sunday

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ekibiina omwegatira abasomesa mu ggwanga ki Uganda National Teachers Union (UNATU) kiyise olukiiko olwamangu okuteesa kukidako kukeediimo ka basomea ba arts okwetoloola eggwanga lyonna.

Olunaku lweggulo Minister avunanyizbwa kunsonga zábakozi Mururi Mukasa, ngaliwamu nómuwandiisi omukulu owa minisitule eno, Catherine Bitarakwate, bawandiise ebbaluwa nga begayirira abasomesa okuyimiriza okwekalakaasa kwabwe kuba gavumenti yeyama okubongeza omusaala mu myaka gye byensimbi egyenjawulo.

Wabula ssabawandiisi wa UNATU, Filbert Baguma agambye nti okusalawo okwenkomeredde kunsonga eno bakumala kutuula ku Sunday eno balabe kyebazako.