Amawulire

UMEME yakwongera ku masanyalaze e Tooro

UMEME yakwongera ku masanyalaze e Tooro

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Umeme egamba nti etadde emitwalo gya $ 20 0nga bwebukadde bwa silingi 705 mu ntekateeka zokwongera ku bungi bwamasanyalaze mu kitundu kya Tooro.

Akulira ekitongole kino Selestino Babungi agambye nti bagenda kudabiriza eesundiro lyamasanyalaze mu kitundu kino kubanga waliwo obwetaavu.

Ekitundu kino kitunuliirwa ngekifo kyebyobulambuzi ekikulembera ebirala mu gwanga lyonna.

Agambye nti ekibuga Fort Portal, kati 90% bibunyemu amasanyalaze era alina essuubi nti entekateeka ezigenda okukolebwa zaakukakasa nti amasanyalaze gatuuka wonna.