Amawulire

UMEME tetundibwa

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

UMEME ma

Kkampuni ya UMEME evuddeyo n’ewakanya ebigambibwa nti etundibwa

Omu ku batwaala kkampuni eno Sam Zimbe agamba nti omu ku balina emigabo mu kkampuni eno y’atunda sso ssi kkampuni yonna

Ono agamba nti bali mu nteekateeka ez’ongera okusiga obukadde bwa doola 400 mu kulongoosa empeereza era nga tebafunanga kirowoozo kitunda

Bino bijjidde mu kaseera ng’ababaka mu palamenti bongedde akazito ku kkampuni ya UMEME nga bagaala egobwe ku mulimu g’wokuddukanya eby’amasanyalaze mu ggwanga kubanga tebisobola.