Amawulire

Umeme enaawebwa buwumbi ng’endagaano yayo ne gavumenti eweddeko

Umeme enaawebwa buwumbi ng’endagaano yayo ne gavumenti eweddeko

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga. Gavumenti yakusasula obuwumbi bwezakuno 802 okwezza emigabo egisinga obungi mu kitongole kya Umeme.

Ekitongole kya Umeme, kyekivunanyizibwa ku nsolooza y’amasanyalaze, n’okugalabilira mu gwanga.

Kino kijidde mu kiseera nga endagaano gyeyakkanya ne gavumenti  ey’emyaka 20 esemberera okuggwako mu mwaka ogwa 2025.

Bino byavudde mu nsisinkano wakati w’akakiiko ka Parliament akavunanyizibwa ku buttonde n’obugagga obw’ensibo gyekaabadde n’abakungu okuva mu Minisitule y’amasanyalaze n’obugagga obw’ensibo bano nga baabadde bakulembeddwa omuwandiisi w’enkalakkalira  Ms Irene Bateebe.

Ekitongole kya Gavumenti ki Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL) kyekigenda okweddiza obuvunanyizibwa obubadde bukolebwa ekitongole ki UMEME.

Bateebe yategeezeza nga ekitongole bwekijja okwetaaga obuwumbi 589 obwa sente zakuno okubunyisa amasanyalaze mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Wano ababaka ba Parliament webasinzidde nebalabula gavumenti okufuba okulaba nga tewabeerawo muwaatwa, kampuni ya Umeme bwenaaba nga ebijjeemu enta.

Bano era balabudde aba kampuni ya Umeme olw’okwesulilayo ogwanaggamba olw’okuba bakitegedde nti obudde bubaweddeko nga newetwogerera waliwo zi transformer ezikyabalemye okuwanika wamu n’emiti egyetaaga okuzzaamu nga kitandise okuviirako ekibululu ky’amasanyalaze mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.