Amawulire

Uhuru ye mukulembeze wa Kenya

Ali Mivule

March 9th, 2013

No comments

Kenyatta

 

Akakiiko akalondesa u ggwanga lya kenya kalangiridde Uhuru Kenyatta ku bukulembeze bw’eggwanga lino.

Ono ye mukulembeze ow’okuna okukulembera Kenya ng’agenda mu kifo kya mwai Kibaki.

Uhuru yafunye obululu 6,173,433 obuweza ebitundu 50.03  ku kikumi okuyitawo obutereevu.

Odinga yafunye obululu 5,340,546 nga biweza ebitundu 43.28%.

Akulira akakiiko akalondesa, Amb. Yusuf Nzibo agamba nti beetegerezza ebivudde mu kulonda okukakasa nti Uhuru awangudde

Ono era awakanyizza ebigambibwa nti baluddewo okufulumya ebivudde mu kulonda okusobola okubba obululu.

Uhuru  mutabani wa Jomo Kenyatta eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Kenya agenda kudda mu bigere bya Mwai Kibaki abaddeko.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *