Amawulire

Uhuru anayogerako eri palamenti ya Yuganda

Uhuru anayogerako eri palamenti ya Yuganda

Ali Mivule

August 4th, 2015

No comments

File Photo: Anyuka sipika wa paramenti ya Uganda

File Photo: Anyuka sipika wa paramenti ya Uganda

Sipiika wa palamenti  Jacob Oulanya  kyaddaaki akakasizza nga omukulembeze w’eggwanga lya Kenya  Uhuru Kenyatta  bw’agenda okwogerako eri palamenti yawano wiiki eno.

Ku ntandikwa y’omwezi oguwedde, Kenyatta yasazaamu enteekateeka z’okujja kuno kubanga y’ali yetegekera bugenyi bw’omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama mu ggwanga lye.

Nga ayogerako eri palamenti olwaleero, sipiika Oulanya akakasizza nga Kenyatta bw’ajja okwogerako eri gyebali ku ssaawa 8 ez’emisana ku lwokutaano wiiki eno.

Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri  Uhuru okugenyiwalako  mu Uganda bukyanga alya obukulembeze bw’eggwanga lya Kenya.

Kenyatta era wakwogeramu ne mukulu munne Yoweri  Museveni ku nsonga z’amawanga gombi.