Amawulire

Uganda yerinze abatujju

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Kenya 2

Oluvanyuma lw’abantu 4 okufiira mu bulumbaganyi  bw’obutujju mu ggwanga lya Kenya ku wiikendi, ebitongole by’ebyokwerinda byongeddemu amaanyi mu by’okwerinda.

Ku lwomukaaga bomu ya grenade yategeddwa ku mwalo e Mombasa kumpi ne hotel emu nga 15 bbo babuuse n’ebisago ebyamanyi.

Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba bongedde okulawuna ebitundu ebitali bimu nga abantu basabiddwa okwongera okubeera obulindaala.

Nga abatujju bakyawera okulumba Uganda, ab’obuyinza mu district ye Namayingo bongedde okunyweza eby’okwerinda okwewala abasala ensalo okwesogga eggwanga mu bukyamu.

Ebitundu 80% mu district ye byetoloddwa mazzi kale nga kibeera kyangu abangwira okuva e Kenya ne Tanzania okwesogga Uganda.

RDC wa district eno era nga yakulita akakiiko k’ebyokwerinda  Mpimbaza Ashaka agamba nti kati bongedde ku balawuna ku mazzi okukwata abo abayingira Uganda nga tebakiriziddwa okwewala abatujju okukozesa emiwatwa gyino okulumba eggwanga.