Amawulire

Uganda yeganye eby’abayeekera ba  ADF

Uganda yeganye eby’abayeekera ba ADF

Ali Mivule

August 18th, 2016

No comments

ADFUganda yewozezzzaako ku bulumbaganyi obwakoleddwa abayeekera ba ADF mu ggwanga lya Dr Congo n’etegeeza nti ssibebokunenyezebwa.

Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga Henry Okello Oryem agamba abantu abakunikiriza eyo mu 40 bebatiddwa mu kitundu kye Beni wabula eno Uganda terinayo buyinza.

Minisita Oryem agamba gavumenti ya Congo erina obuvunaanyiaibwa okukuuma abantu baayo wabula nga gavumenti zonna zisobola okugenda mu maaso n;okuwanyisiganya amwulire ku byeokwerinda ku bayeekera bonna mu kitundu kino.

Minister Oryem agamba Uganda netegefu okukwatagana ne Congo okukola ebikwekweto eby’awamu okulwanyisa abayeekera bonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *