Amawulire

Uganda yakwekennenyezedwa ku ddembe lya’baana

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akakiiko ke ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights Commission nekitongole kya UNICEF bakufulumya alipoota yaabwe, oluvanyuma lwokwekenneya engeri Uganda gyetekesa mu nkola endagaano yekibiina kyamawang amagatte eya 1990 ekwata ku baana.

Okusinziira aku kiwandiiko ekivudde mu wofiisi yakulira ebyamaulire mu UNICEF Uganda, Catherine Ntabadde bakwanjula alipoota eno nga 17 July, wiiki ejja wano mu Kampala, nga batunuliira amateeka aku baana.

Agambye nti waddenga waliwo ebikolwadde okukuuma abaana, naye wakyaliwo omuwaatwa omunene.

Alipoota era yakunokolayo ebigwana okukolebwa, okumalawo okusomozebwa.

Uganda yateeka omukono ndagaano ya UN ku baana eya 1990 okukomya okutunda abaana ngabaddu, okubateeka mu bikolwa ebyobwenzi nobukaba ate nobutabateeka mu ntalo.