Amawulire

Uganda terina bulwadde bwa polio.

Uganda terina bulwadde bwa polio.

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba samuel.

 

 

Ministry ekola ku by’obulamu ewakanyizza ebibade bigambibwa nti ekirwadde kya Polio ky’anaawuse okuva mu congo nekiyingira mu uganda.

Ebiwandiiko ebiva mu ministry ekola ku by’obulamu biraga nga Polio bweyakoma okujja mu gwanga mu mwaka 2010, kale okuva olwo uganda eri mu mirembe.

Kati twogedeko n’omwogezi wa ministry eno Vivian Sserwanja  n’agamba nti uganda erudde nga ekebera buli ayingira mu gwanga nadala okuva e congo, kale kino kibayambye nyo okwetangira ekirwadde kino.