Amawulire

Uganda tenatebwamu, Micho musanyufu

Uganda tenatebwamu, Micho musanyufu

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Omutendesi wa tiimu yegwanga, the Uganda Cranes, Multin Micho agambye nti musanyufu nti tebanakubwamu goolo mu mipiira gyonna gyebakasamba.

Wabula kino agamba nti kisobose, waddenga basambisizza basambi bappya.

Micho agambye nti waddenga baasobodde okukukungaanya obubonero 6 ku Rwanda, tebasambye bulungi kubanga abawuwuttanyi tebanakwatagana bulungi nabateebi.

Uganda yakubye Rwanda 1-0 omwayo ku St Mary’s e Kitende, mu mupiira ogwokuddingana.

Uganda yawezezza obubonero 8 okuva mu mipiira 4, nga tebanatebwamu goolo.

Kati bali mu kifo kyakubiri mu kibinja nga Mali yekulembedde nobubonero 10 oluvanyuma lwokukuba Kenya 1-0 ku Nyayo Stadium e Kenya.

Kati Uganda yakukyaza Kenya oluvanyuma bakyalire Mali omwezi ogujja.