Amawulire

Uganda tekyusizza kifo mu kulya enguzi

Uganda tekyusizza kifo mu kulya enguzi

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Alipoota ekwata ku nguzi eyomwaka 2021, eya Corruption perceptions index eraze nti wabaddewo okuzingama mu kulwanyisa enguzi, mu mawanga 180.

Bwabadde afulumya alipoota eno ssenkulu wa Transparency International Uganda nga ye Peter Wandera agambye nti Uganda yafunye obubonero 27 era eri mu kifo kya 144 mu mawanga awamu 180 gebatunuliira mu kunonyereza kuno.

Agambye nti buno bwebubonero bwennyini Uganda bweyafuna mu 2020, waddenga ku mulundi guno baserengeseemu okuva mu kifo kya 142 okudda mu 144.

Mu mawanga ga East Africa, Rwanda yekyakulembedde mu kulwanyisa enguzi nobubonero 53, nebagobererwa Tanzania nobubonero 39 ne Kenya ku 30.

Burundi eri mu kifo kya 4 nobubonero 19 atenga South Sudan yesingamu enguzi balina obubonero 11.