Amawulire

Uganda tekozesezza misingi egyalekebwawo abafuzi bamatwale

Uganda tekozesezza misingi egyalekebwawo abafuzi bamatwale

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Uganda eremereddwa okuzimba ebitongole ngetandikira ku misngi egyazimbibwa, abafuzi bamatwale ababawa obwettwaze emyaka 59 emabega.

Bino byogeddwa, omusomesa we Makerere Mwambustya Ndebesa nga Uganda egenda okukuza emyaka 59 egyobwetwaze.

Okusinziira Mwambustya, abazungu baali bazimba emisingi ensi kwetambulira, era bangi bajitambuliddeko nebagenda mu maaso, wabula mu Uganda emisngi bagisanyizaawo.

Ono avumiridde ekikolebwa, okutondawo disitulikiti nebifo byobukulembeze okusinziira ku mawanga.

Mwambustya bino abyogeredde ku NBS TV, bwebabadde bakubaganya ebirowoozo ku mefuga ga Uganda.

Wabula gavumenti ya NRM benyumiriza, mu bitukiddwako mu byenjigiriza, ebyobulamu, ebyobulimi, ebyakitonologiya nenkulakulana eyawamu mu byenfuna.

Emikolo gyamefuga ga Uganda egyomulundi ogwa 59 gigenda kubeera Kololo, wabula gigenda kukwatibwa mungeri yanjawulo.

Givugidde ku mubala Celebrating our 59th Independence Day as we secure our Future through National Mindset Change” nomulanga okukyusa endowooa zaffe.