Amawulire

Uganda Law Society bakungubagidde Bob Kasango

Uganda Law Society bakungubagidde Bob Kasango

Ivan Ssenabulya

February 28th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Uganda Law Society ekibiina kyabannamateeka mu gwanga, bakungubagidde munaabwe Bob Kasango, afiridde mu ddwaliro lye kkomera e Luzira erya Murchison Bay Hospital.

Kasango abadde mu kkomera okuva mu mwaka gwa 2018, wabula yafudde akawungeezi ke ggulo, bwebababdde batekateeka okumwongerayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Kati pulezidenti wa Law Society Phiona Wall omugenzi amwogeddeko ngabadde omukozi era abamu kuba bwongo mu kisaawe kyamateeka mu gwanga, atenga yakwata neku bannamateeka abalala.

Wabula okufa kwe akinenyezza ku nkola yemirimu gyabwe, ngagambye nti okutuusa obwenknaya kwetobeseemu okusomezebwa kungi, ngakyesigamizza ku kusaba Kasango kweyakola entakera bamuyimbule agende ajanjabibwe wabula nekuganibwa.

Omwogezi wekitongole kyamakomera Frank Baine agambye nti Kasango abadde mulwadde wamutima.

Agambye nti omulambo guli mu gwanika lye ddwaliro e Mulago, nga bakyalindirirdde alipoota yabasawo.

Kooti ewozesa abyake nabakenuzi mu mwaka gwa 2018 yasingisa Kasango emisango gyobulyake nabakungu abalala mu minisitule yabakozi, nga kigambibwa nti bekobaana nokujingirirra ebiwandiiko okubulankanya obuwumbi 15 ezaali ezakasiimo kabakozi.

Omugenzi Kasango abadde ali ku kibonerzo kyabusibe bwa myaka 16.