Amawulire

Uganda ezudde ebolombe bya Zaabu ebirala

Uganda ezudde ebolombe bya Zaabu ebirala

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ministry evunanyizibwa ku mafuta n’eby’obugagga eby’ensibo etegeezezza nga bw’eriko ebirombe by’eky’obugagga ekya zaabu byezudde okwetoloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Minista Ruth Nankabirwa bino yabitegeezezza banna mawulire ku Media Centre mu Kampala nga ebilombe bino bwebilabiddwa mu district okuli eye Mubende, Buhweju, Namayingo, Karamoja wamu ne Zombo.

Nankabirwa agamba nti mu December w’omwaka guno basuubira okutongoza kampuni ya Wagagi Mining Limited mu district y’e Busia ng’eno yakukola ku bukadde bwa tani z’ettaka omusangibwa zaabu.

Ono wabula asabye abantu abenyigira mu mulimu guno okuvaayo bewandiise mu butongole gavumenti ebamanye basobole okukolera mu makubo amatuufu.

Alipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti ey’omwaka 2021/22 yalaga nti omusolo oguli eyo mu buwumbi 340 gwegufiiriizibwa buli mwaka okuva ku ky’obugagga kya zaabu atundibwa emitala w’amayanja okuva mu zaabu abalirirwamu trillion za Uganda 7 mulambilira.