Amawulire

Uganda ewereddwa eddagala lya Moderna doozi 647,080

Uganda ewereddwa eddagala lya Moderna doozi 647,080

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Paul Adude

Minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng ategezezza ngeddagala erigema ssenyiga omukambwe eryekika kya Moerna, doozi emitwalo 64 mu 7,080 bwerigenda okukozesebwa ku bantu abatanafuna doozi esooka.

Eddagala lino lukubibwa doozi 2, ngeyokubiri ekubibwa nga wayise wiiki 4, wabula minisita alabudde nti terisobola kugattibwako ddagala eryekika ekirala.

Bino minisita abyogedde bwabadde akwasibwa eddagala lino eryawereddwa Uganda, okuva mu gavumenti ya America, wansi wentekateeka ya COVAX Facility.

Olunnaku lweggulo werywatukidde, minisita yagambye nti Uganda nga yakafuna eddagala doozi obukadde 2 mu emoitwalo 15 mu 3,140 eryekika kya AstraZeneca, doozi emitwao 30 erya Sinovac nga kwegatiddwako ne doozi emitwalo 64 mu 7,080 erya Moderna.

Aceng agambye nti abantu akakadde 1 mu emitwalo 4 mu 4,871 doozi esooka, ngabantu emitwalo 43 mu 1,655 bebakafuna doozi eyokubiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *