Amawulire

Uganda etandise okwetangira Ebola

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Oluvanyuma lwekirwadde kya Ebola okukaksibwa ku muliraano mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo, ministry yebyobulamu kuno egamba etandise okubaga ku ntekteeka yokwetangiramu ekirwadde kino.

Bwabadde ayogerako naffe minister omubeezo owebyobulamu Sarah Opedi, agambye nti abataddewo akakiiko akenjawulo, okulondoola ensonga.

Kati minister era ategezezza nti balina obukugu obumala okwenaganga ekirwadde kya Ebola.

Mu mwaka gwa 2000 kinajjukirwa nti Ebola mu mambuka ge gwanga yatt abantu 224 nokuleka abalala 425 nga bali ku bisituliro.

Abamu ku bataliryelabirwa ye Dr Matthew Lukwiya eyali akulira eddwaliro lya St Mary’s Hospital, Lacor, eyali agezaako okujanjaba Ebola.