Amawulire

Uganda eribulindaala okulwanyisa Ebola

Uganda eribulindaala okulwanyisa Ebola

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule y’eby’obulamu esabye bannauganda okwongera okwegendereza obulwadde bwa Ebola oluvannyuma lw’ekirwadde kino okuddamu okulabikako mu ggwanga lya DR Congo eriri ku muliraano.

Bwabadde ayogerako ne KFM, omwogezi wa minisitule eno Emmanuel Ainebyona agamba nti eggwanga lirina obumanyirivu bungi mu kukwata endwadde ezibalukawo nga Ebola ne Marburg.

Ainebyona agamba nti minisitule enywezeza ebyokwerinda byayo okwewla ekirwadde kino.

Wabula agamba nti buli muntu alina obuvunaanyizibwa okufaayo ku bubonero bwa Ebola ng’omusujja, okuvaamu omusaayi ogutategeerekeka, bwobufuna dduka mu ddwaaliro eliri okumpi.

Disitulikiti 21 mu Uganda zikyali mu bulabe obw’amaanyi obwokufuna ekirwadde kino okuli; Kanungu, Kisoro, Kasese , Bundibugyo ne Zombo nendala.

Eggwanga lya Democratic Republic of Congo (DRC) lizzeemu okukwatibwa akawuka ka Ebola oluvannyuma lw’omuntu omu okufa ekirwadde ku Mmande.