Amawulire

Uganda enenyezebwa olw’obutayolesa mmotoka ya Kiira

Uganda enenyezebwa olw’obutayolesa mmotoka ya Kiira

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisita wa sayansi ne tekinologiya Dr Monica Musenero obutayolesa mmotoka ya Kira ekolebwa mu Uganda, mu mwoleso gwa Dubai Expo akitadde ku bbula lyansimbi.

Musenero yabadde mu kakiiko ka palamenti aka tekinologiya, eno omubaka wa Terego West Joel Leku namuteeka ku nninga okunyonyola lwaki obuyiiya nga buno tebwatereddwa ku mudaala gwa Uganda.

Kati yayanykudde nti singa baabadde nensimbi ezimala, bandisobodde okubaako kyebakola.

Wabula agambye nti bakyalina obudde, bajja kusobola okwolesa emmotoka eno okuyita ku mutimagano.

Bino webijidde nga bannaYuganda, basinziidde ku mitimbagano okuwakanya Uganda byeyalosezza.

Kuno kwabaddeko Lato Milk namajaani, abamu kyebagamba kyabadde kiswaza.

Akulira emirimu gyokuweesa mu Kira Motors Corporation nga ye Albert Akovuku agambye nti betaaga obuwumbi 77 okuzimba ekkolero eryomulembe.