Amawulire

Uganda ekyalina edagala elya ARV erimala.

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

 

Ministry ekola ku by’obulamu ewakanyizza ebibadde bigambibwa nti edagala eriwezeeza ku mukeenya lyawedewodda.

Ekiwandiiko ekivudde ewa Dr Henry Mwebesa nga ono yakolanga atwala eby’obujanjabi mu ministry eno ,kiraze nga ministry bwerina edagala erimala okubuna uganda yonna.

Wabula omukulu ono akirizza nti mu mwezi gwa September edala lino lyakerewamu okutuuka mu malwaliro ,wabula nga kino kyava kuntekateeka mbi, sosi bula lyadagala.