Amawulire

Uganda ekakasizza abalwadde ba Omicron

Uganda ekakasizza abalwadde ba Omicron

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa

Uganda ekakasizza abalwadde ba ssenyiga omukambwe 9, nga balina akawuka ka Omicron ekika ekyatandikidde mu gwanga lya South Africa.

Kitegezeddwa nti bano baayingira mu gwanga, okuva e bweru wiiki 2 emabega.

Okusinziira kube kkebejezo lya gavumenti erya Uganda Virus Research Institute, basoose okuzuula akawuka kano ku batambze abayingidde okuyita ku kisaawe ky’Entebbe.

Bwabadde ayogerako naffe akulira Uganda Virus Research Institute, Dr. Potiano Kaleebu batandise eokulondoola amayitire gobulwadde.

Abantu abazuliddwamu obulwadde bavudde mu mawanga okuli Nigeria, United Arab Emirates, South Africa, Democratic Republic ya Congo ne Netherlands.

Bano bajjira ku nnyonyi okuli Ethiopian Airways, Uganda Airlines, Kenya Airlines.

Abalwadde bano baayingira mu gwanga wakati wakati wakati 28 ne 29 Novemba.

Mugeri yeemu, ekitongole ekivunayizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority kiragudde, nti wagenda kuberawo okweyongera mu miwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya.

Okusinziira ku ssenkulu wekitongole kino Joseph Muvawala, mu kubala okwawamu basubira abalwadde aba buli lunnaku 45 nomugatte abalwadde 312 mu wiiki.

Mu wiiki eyanga 12 okutukira ddala nga 18 Decemba, abalwadde 47 bebajja okufunikanga buli lunnaku mu kubala okwangu,nomugatte 330 mu wiiki yonna.

Kuno kwekulagla kwebakoze mu kiseera kino ngensi yazeemu akasattiro, olwakawuka ekikaya kya Omicron akatandikidde mu South Africa.

Ku lukalu lwa Africa, South Africa egenda kwongera okufuna okulinnya mu miwendo gyabalwadde mu kubala abalwadde emitwalo 6 mu 2,000 buli wiiki.

Amawanga amalala agakoseddwa era agagenda okwongera okukosebwa kuliko Lethoso, Benin, Republic of Congo, Central African Republic ne South Sudan.