Amawulire

Uganda efunye eddagala ly’omusujja eriweza obukadde bwensimbi18

Uganda efunye eddagala ly’omusujja eriweza obukadde bwensimbi18

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ministry y’eby’obulamu etegezeza nga Bantu 400 bebafa omusujja gw’ensiri buli mwezi ,nga Kati waliwo amakampuni agavuddeyo negaddukirira minisitule neddaggala ly’omusujja gwensiri eribalirirwamu obukadde bwezakuno 18 nga lino lyakutwalibwa mu district ye Kakumiro liyambeko abeeyo okwetangira endwadde.

Bino byasanguziddwa Dr.Patrick Tusiime kamisona avunanyizibwa ku kuntangira endwadde mu ministry y’ebyobulamu bwabadde akwasibwa eddagala ly’omusujja gwensiri ku kitebe kya ministry yebyobulamu mu Kampala.

Wano wasinzidde nakubiriza bannauganda okugenda malwaliro nga bukyali okufuna obujanjabi singa baba bawulira obubonero bwomusujja.

Mungeri yemu Tusiime alabudde ababbi beddagala malwaliro ga gavumenti nti singa bakwatibwako bakukangavuulwa