Amawulire

Uganda efunye doosi zédaggala lya Ebola 40000

Uganda efunye doosi zédaggala lya Ebola 40000

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa, 

Minisita w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng ategezeza nti Uganda mu wiiki ejja egenda kufuna eddagala erigema ekirwadde kye Ebola ektalumba eggwanga.

Ono okuvaayo bwati nga abantu 19 bebakafa ekirwadde kino songa abantu 54 bebakakwatibwa.

Bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa baminisita okuva mu mawanga agenjawulo mu kampala olutudde okutema empenda ezokulwanyisamu ekirwadde kye ebola, Dr Aceng agambye nti Uganda egenda kufuna ebika by’okugema bibiri; Dozi za Oxford 171 ezikolebwa mu Bungereza ate dozi za Sabin 300 ezikolebwa mu USA.

Agaseeko nti dose ezisoba mu 40,000 ze zisuubirwa okutuuka mu ggwanga mu November.

Okusinziira ku Aceng, eddagala lino libadde linonyerezebwako okuzuula enkola yalyo nokulaba oba teririna bulabe eri abantu.