Amawulire

Uganda bajijje ku lukala lwabatalina kugenda Bungereza

Uganda bajijje ku lukala lwabatalina kugenda Bungereza

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Uganda yeemu ku mawanga 47 Bungerez, gejje ku lukalala lwabatalina kuyingira gwanga eryo.

Bungereza eriko amawanga geyatekako ekkoligo, nga baakikola okwetagira ssenyiga omukambwe, COVID-19.

Akulira ebyentambula mu Bungereza oba Transport Secretary Grant Shapps agambye nti amawanga gebataguludde kigenda kutandika okukola ku Bbalaza wiiki ejja, ngalaze essuubi nti ebyentambula bigenda kulongoka eri egwanga lino nabatambuze bennyini.

Kino kitegeeza nti abantu bebagema doozi ssenyiga omukambwe nezigwayo okuva mu mawanga 47 gebataguludde okuli South Africa, Brazil, Mexico namalaa, bakuyingira egwanga lino awatali kubateeka mu kalantiini, okubakebera nebirala.

Wabula abatambuze bajja kuba batekeddwa okusindika ekifanayi ekyamapula zaabwe ezokubakebera, okusobola okuzekennneya obulungi.

Ekitebbe kya Bungereza mu Uganda bayise ku tweeter nebasubiza nti bagenda kukolagana butereevu ne minisitule yebyobulamu mu ntekateeka yonna.

Wabula amawanga amalala, agakyasigadde ku lukalala kuliko Panama, Colombia, Venezuela, Peru, Ecuador, Haiti ne Dominica.