Amawulire

Akalulu ke’kikungo Uganda ssi keyetaaga

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe

Akalulu akekikungo ssi Uganda kyeyetaaga wabula aokuzimba empagi za democrasiya, okusinziira ku mukubiriza wa palamenti ye gwanga lya Estonia.

Abekibiina kya NRM ekiri mu buyinza bali mu ntekateeka okuleeta ekiteeso wabeewo akalulu kekikungo ku kyokwongeza ebisanja byomukulebeze we gwanga okuva ku myaka 5 okudda ku myaka 7.

Wabula wabadde ayogerako naffe ngasinziira mu wofiis ye mu Tallinn, Nestor agambye nti kibeera kisobokera ddala okufuna endowooza zabantu okuyita mu makubo amalala.

Ono awabudde nti kikyamu kubanga abakulembeze bakozesa akalulu kekikungo, okuyisaawo byebagala

Yye akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Winnie Kiiza ategezeza nti bann-Uganda betaaga baweebwe omukisa okesalirawo ku nsonga yemyaka gyekisanja kino.