Amawulire

UCC yakujjako amasimu amajingirire

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Abakulu mu kakiiko kebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission bagamba bagenda kwongera amanyi mu kujjako amasimu agebikwangala.

Akakiiko kalagidde amakampuni gamasimu okujjako essimu zonna enfu.

Fred Ottunu omukwanaganya wemirimu gyekitongole nabe bweru mu UCC agamba nti kino tekirubiridde nsonga za byakwerinda wabula kutaasa ku bantu, okubaguzanga ebintu ebijirire, wabulanga kigenda kukolebwanga mpolampola.

Kati abantu babulijjo basabiddwa okusooka okukakasa obutuufu bwe ssimu.

Wano onyiga *#06# olwo nofuna code eye namba 15 ku 17.

Oba osobola nokukebera wansi we lyanda nokebera enamba yeemu.