Amawulire

UAE esonyiye bannauganda abagendayo mu bukyamu-yakubaza ku bweerere

UAE esonyiye bannauganda abagendayo mu bukyamu-yakubaza ku bweerere

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti ya United Arab Emirates (UAE) esonyiye bannauganda bankuba kyeyo ababadde mu ggwanga eryo mu bukyamu era egenda kuyambako mu kubakomyawo.

Bino byogeddwa minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’embeera z’abantu, Betty Amongi bwabadde ayogera eri bannamawulire mu Kampala kunsonga za bannauganda ababonabonera ku mawanga.

Amongi agamba gavumenti egezezzaako okulondoola ensonga ya bakozi ababonabonera mu mawanga ga bawarabu kyokka n’ezuula nti wadde ezimu zirimu eggumba ate endala si ntuufu ng’abantu bagabana ebifaananyi by’abantu abava mu mawanga amalala ababonabona nga beefudde Bannayuganda.

Agattako nti alipoota era ziraga nti Bannayuganda abasinga obungi abali mu buzibu abali ebweru w’eggwanga baakozesa engeri emenya amateeka okutambula.

Mungeri y’emu agamba nti United Arab Emirates ewaddeyo tikiti ez’obwereere okuyamba Bannayuganda ababundabundira munsi yabwe okudda e uganda.

Bukya kulangirira kuno kubaawo Amongi, agamba nti bankuba kyeyo abasoba mu 400 abatagoberera mitendera mituufu okugenda beewandiisiza basobole okubaza.