Amawulire
Tumwine atiisatiisa Cecilia Ogwal
Bya Benjamin Jumbe
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde kalaani wa palamenti, okwongera okunyweza obukuumi eri omubaka omukyala owa district ye Dokolo Cecilia Ogwal nga kigambibwa nti minister webyokwerinda Gen Elly Tumwine, alina engeri gyamutisatisaamu.
Omubaka Ogwal alopedde palamenti, engeri Gen Tumwine gyamutisaamu wabweru wa palamenti, nga yatuuse nokumutunuzaamu akabundu akatono kika kya basitoola.
Kino agamba nti kyatandika okuva lweyawakanya entekateeka ya gavumenti okukozesa eddagala lya DDT okukozesebwa okulwanyisa ensiri.
Wabula General Tumwine byonna byebalumiriza abyegaanye.