Amawulire

Tumwebaze eyise ba meeya

Ali Mivule

September 16th, 2014

No comments

Tumwebaze fresg

Minisita wa kampala Frank Tumwebaze ayis eolukiiko lwa ba meeya ba divizoni mu kibuga nga luno lwakuteesa ku kwekumulugunya okuliwo ku nzirukanya y’emirimu

Meeya we Nakawa Ben Kalumba atutegeezezza nti bakukozesa akakisa kano okutuusa amaloboozi gaabwe ku birudde nga bibaluma

Kalumba agamba nti era bakwanja ensonga y’enkola empya ezizze mu kibuga  gy’agamba nti yabaleka nga tebalina byebakola bannabyabufuzi mu kibuga

Ku ntandikwa y’omwezi guno meeya Godfrey Nyakaana yaddukira mu kkooti nga yemulugunya ku nzirukanya

Wabula yye omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti tebannafuna kutegeezebwa kwonna ku Lukiiko luno