Amawulire

Tetunonyereza ku Mbabazi- Kaihura

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

kaihura new

Poliisi ewakanyizza ebigambibwa nti enonyereza kw’abadde ssabaminisita Amama Mbabazi3

Kiddiridde ebigambibwa nti poliisi ebadde enonyereza ku bigambibwa nti abavubuka ba NRM abeekalakaasa bawagirwa Mbabazi ono

Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti poliisi terina nsonga lwaki enonyereza ku Mbabazi kubanga teri yamuwaabye

Kaihura wabula agamba nti basanyufu okubeera nga beebakuuma Mbabazi kubanga mukakafu nti bakumukuuma bulungi