Amawulire

Tetunateesa na Besigye-Opondo ayogedde

Ali Mivule

April 5th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Gavumenti yeganye ebigambibwa nti munna FDC Dr Kiiza Besigye ne pulezidenti Museveni bali mu nteeseganya.

Kino kiddiridde Besigye okukakasa nga ye ne pulezidenti Museveni bwebali mu kuteesaganya naddala mu kwekenenya ebyaliwo mu kalulu k’obwapulezidenti aka 2016.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire wali ku ssengejero lya Mawulire ga gavumenri erya Media Centre, amyuka omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nti Besigye atandise kukola bwadiikuula bwavaayo nategeeza eggwanga nga bwebakiriziganyizza ku nteeseganya ne Pulezidenti Museveni.

Opondo agamba teri mukungu wa gavumenti yenna yatuukiridde Besigye ku nteseganya kale nga bwaba alina obukakafu aleete obujulizi.

Ono era atabukidde gavumenti ya Sweden egambibwa okuvaayo n’omutabaganya mu nteeseganya zino nti kale nayo ereete obujulizi oba waliwo eyali agisabye okweyingiza mu nsonga za Uganda.

 

Ofwono on Besigye dialogue eng/lug.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *