Amawulire

Tetujja kuva South Sudan- Katumba Wamala

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

Katumba wamala

Ssabaduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala asambazze abyafulumidde mu alipoota y’ekibiina ky’amawanga amagatte yonna nti amaggye ga UPDF gaakozesa Bomu zisabyalo mu ggwanga lya South Sudan.

Gen Wamala agamba alipoota eno ekontana n’eya 2013 eyalaga nga bomu zino bwezaali edda munda mu ggwanga lya South Sudan.

Bwatuuse ku kya ssabayekera Riek Machar’s okulagira amaggye ga UPDF okwamuka South Sudan Machar ategezezza nga bwebakyalinda maggye ga IGAD nga gano ga mukago ogukunganya abakulembeze b’amawanga agenjawulo.

Ono era akaladde nti teri eyinza kugoba UPDF mu South Sudan okugyako nga gavumenti yenyini y’ebakooye.

Amaggye ga Uganda gaasimba amakanda mu ggwanga lya South Sudan bukyanga kulwanagana kubalukawo mu