Amawulire

Teri magye malala gagenda kwegatta ku UPDF mu DR-Congo

Teri magye malala gagenda kwegatta ku UPDF mu DR-Congo

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisita omubeezi avunayizibwa ku nkolagana ye gwanga namawanga amalala, Henry Okello Oryem agambye nti tebasubira gwanga ddala lyonn okuva ku mulirwano, okwegatta ku magye gegwanga aga UPDF okulwanyisa abayekera era abatujju mu Buvanjuba bwa Democratic Republica ya Congo.

Bweyabadde agenyiwaddeko wano mu gandaalo erya Sabiiti, Oryem yagambye nti amawanga agasigadde gabawagira mu lutalo lwebatandise mu Congo okuli ne Rwanda.

Oryem agambye nti Rwanda erina bingi byeyagala mu DR Congo okusukka neku kulwanyisa ayekera, kalenga bawagira ekya UPDF okumalawo aba ADF.