Amawulire

Teri kuzzaako TV

Teri kuzzaako TV

Ali Mivule

July 3rd, 2015

No comments

File Photo: Ebisowani bya Tv

File Photo: Ebisowani bya Tv

Minisita omubeezi avunanyizibwa ku by’empuliziganya ne tekinologiya Nyombi Tembo asabye abantu babulijjo obutagendera ku kiragiro kya kkooti okuyimiriza enkola ya Digito.
Olunaku lw’eggulo omulamuzi w’eddaala erisooka e mengo yayisiza ekiragiro ekiyimiriza akakiko akavunanyizibwa ku byempuliziganya, okujjako TV ezitali ku Digito.
Nyombi agambye nti bannamateeka okuva mu kakiiko k’ebyembuliziganya bamaaze dda okutwala okwemulugunya ku nsala y’omulamuzi ono mu kooti enkulu.
Ono era asabye abantu okugenda mu maaso n’okugula budikooda bwa Digito obutasukka nga 31, kubanga gavumenti yakujjako TV zonna okwetoloola eggwanga.