Amawulire

Teri kuzzaako TV zitali za digito

Teri kuzzaako TV zitali za digito

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Essuubi lyabannayuganda abaagala TV zaabwe zidizibwe ku nkola ya analog etali yakussulira ligenda lisebengerera.

Omulamuzi wa kkooti ye Mengo omukulu Jane Natukunda asazizzamu ekiragiro kya kkooti eno ekyasooka okuzzako Tv z’abantu ezagyibwako ezitaali ku nkola ya Digito.

 

Natukunda ategezezza nga kkooti ye Mengo bweri ento etalina buyinza kusalawo ku nsonga eno n’agisindika mu kkooti enkulu era n’awa abaagala Tv zabwe okudizibwa kun kola ya Analog amagezi bekubire enduulu mu kkooti enkulu.

 

Okusalawo kuno kuddiridde okusaba okuva eri akakiiko akakola ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communications commission okusaba okusalibwawo okwasooka okuwebwa omulamuzi  Samuel Moses Kagoda.

Munnamateeka  Enos Mugabi yeyaddukira mu kkooti eno nga awakanya eby’okugyako TV Zabannayuganda ezitali kun kola ya digito bweyategeeza nti amateeka tegagobererwa mu kuziggyako nga era zagyibwako nsalesale wa nga 17 July 2015 tannatuuka.