Amawulire

Teri kudda Mabega, ngenda mu bantu -Mbabazi

Teri kudda Mabega, ngenda mu bantu -Mbabazi

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

File Photo: Mbabazi ngali ne Museveni

File Photo: Mbabazi ngali ne Museveni

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi   ategezezza nga poliisi bwetalina buyinza kugaana lukungana lwabufuzi lwonna okugyako okuwa abalurimu obukuumi.

Bino Mbabazi abyogedde  ayogerako nebannamawulire amakya galeero, .

Bw’atuuse ku tteeka erilungamya enkungaana, Mbabazi ategezezza nti abantu abasinga bamunenya nti yeyali emabega w’okuleeta etteeka lino wabula nga era tekikyusa nti poliisi terina buyinza kulungamya nkungaana .

Mbabazi ategezezza nga bweyategezezza dda poliisi ku nteekateeka ze ez’okwebuuza ku balonzi be kale nga poliisi erina kumukuuma ssosi kumukugira .

Akinoganyizza nga ekya pulezidenti Museveni okwesibawo awatali amuvuganya mu kibiina  bwekikontana n’ebyalwanirirwa ekibiina kya NRM.

Mbabazi era asabye bannayuganda obutalimbibwalimbibwa bifuluma nti ye okwesimbawo kigenda kuleetawo akasambattuko mu ggwanga.

Mungeri yeemu bannamateeka ba Mbabazi  olwaleero basuubirwa okusisinkanamu poliisi okwongera okuteesa ku ky’omuntu waabwe okwebuuza ku balonzi poliisi kyekyasimbidde ekkuuli.

Mbabazi asuubirwa mu disitulikiti ye Mbale ku lunaku lwokuna nga poliisi yaweze dda okulinya eggere mu nteekateeka ze.

Munnamateeka wa Mbabazi  Fred Muwema agamba poliisi y’abayise olwaleero okwongera okumumunyamuunya mu nsonga eno.