Amawulire

Teri Kavuyo mu 2016- bannakyeewa bayomba

Teri Kavuyo mu 2016- bannakyeewa bayomba

Ali Mivule

October 2nd, 2015

No comments

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu

Akakiiko k’ebyokulonda kaweze okuziyiza obubinja by’abakubi b’emiggo okwenyigira mu ntekateka z’okulonda.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga  Eng Badru Kiggundu agambye nti bamazze dda okufuna amawulire agalaga nti waliwo abamu ku besimbyewo abatandise okutendeka obubinja obungenda okutabangula okulonda.

Kiggundu agambye  poliisi yokka yegenda okukirizibwa okukuuma okulonda.

Mungeri yemu Kigundu agambye nti ebibiina by’obufuzi wamu n’abantu abesimbyewo kulwabwe bakukirizibwa okuteeka abantu 5 mu buli gombolola.

Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde ng’okusunsula abagenda okwesimbawo ku bwa pulezidenti bwekwongezeddwayo okutuuka nga 3 ne 4 Omwezi ogujja.

Ate byo ebibiina by’obwanakyewa biraze obutali bumativu olw’ensimbi enyingi ezigenda okusasulwa abagala okwesimbawo.

Mu mateeka g’ebyokulonda amajja, abagala okwesimbawo ku bubaka bwa parliament bakusasula obukadde 3 okuva ku mitwalo 20, ate abagala okwesimbawo ku bwa president okusasula obukadde 20 okuva ku bukadde 8.

Omukwanaganya w’emirimu mu kitongole kya Citizens’ Coalition for Electoral Democracy Crispy Kaheru  agambye nti kigenda kulemesa bana uganda abaavu naye ngabalina embavu okwesimbawo.