Amawulire
Temutunda kalulu
Abalondoola eby’okulonda mu ggwanga aba Citizens’ Coalition for Electoral Democracy balabudde bannayuganda okussa ekitiibwa mu kalulu kaabwe baleme kukatunda eri abesimbyewo ababagulirira.
Avunanyiaibwa okutuuka mu bantu Kasawuli Yasin n’ekibinja ekirala ebjiri eno bagisasanyizza babunyisa kawefube waabwe owa TOPOWA agendereddwamu okumanyisa bannayuganda ku bikwata ku kulonda n’okulwanyisa okugulirirwa.
Ono ategezezza nga abasinga bwebatamanyi bukulu bwakalulu era n’alabula bonna okwewala efujjo mu kulonda.