Amawulire

Tekinologiya alemesezza okuwuliriza emisango gyabasibe e Luweero

Tekinologiya alemesezza okuwuliriza emisango gyabasibe e Luweero

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Wabaddewo okweyongera mu nkozesa ya tekinologiya, eri ekitongole ekiramuzi mu kiseera kino ekya ssenyiga omukambwe.

Wabula mu disitulikiti ye Luweero abasibe bangi, bolekedde okuvundira mu maskomera ngemisango gyabwe tejiwuliddwa lwabutabeera na yitaneeti eyomulembe esobozesa emirimu okugenda mu maaso.

Eno abasibe abasoba mu 100 abali mu kkomera e Kitalya, babadde batekeddwa okulabikira ku Zoom mu maso gomulamuzi wabula baigezezaako enfunda eziera yintaneti nebtimawa.

Bino omulamuzi wa kooti ye Luweero Samuel Munobe yabitegezeza bannamwulire nalaga okunyolwa olwengeri emirimu gyegigotanyemu.

Abamu ku basibe abali mu 100 bali ku misango gya naggomola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *