Amawulire

Tebabagaana Kwo’gera ku Kokommo ku Myaka

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses

Omubaka we ssaza lye Kabula mu lukiiko lwe gwanga olukulu, James Kakooza asabye omyukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga obutagezaako ddembe lyabantu kulinyirirwa, yaba awa abantu babulijjo ekyanya okwogera ku nnongosereza mu ssemataeeka we gwanga ezifuuse ensonga.

Bino webijdde nga speaker yakajja alabule ku byeyayise, okutebereza nokuwabya abantu ku ebizze byogerwa nti palamenti yandiba ngegenda kujjawo ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Omubaka Kakooza bwabadde ayogerera mu lukungaana lwabannamwulire ku palamenti amakya ga leero, ategezezza nti ddembe lyabantu babulijjo okwogera ku nsonga zino, era tewali atekeddwa kubakuba ku nsolobotto.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *