Amawulire

Tayebwa asabye bannekolera gaynge ku musujja

Tayebwa asabye bannekolera gaynge ku musujja

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Amyuka Sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa asabye bannekolera gyange mu Uganda okussa ssente mu kukola ebintu ebirwanyisa omusujja gw’ensiri wano mu ggwanga mu kawefube wokulwanyisa omusujja gwensiri

Okwogera bino yabadde ayogera eri ababaka ba Palamenti abava mu West Nile mu kwetegekera okutongoza kampeyini yokufuyira ebitundu ebisingamu ekirwadde ky’omusujja gw’ensiri

Okusinziira ku Dr Charles Olaro, Dayirekita w’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu abalwadde abajjanjabirwa mu ddwaaliro ebitundu 50 ku 100 n’abalwadde abajjanjabirwa ebweru ebitundu 20 ku 100 mu bifo by’ebyobulamu balina omusujja gw’ensiri.