Amawulire

Tayebwa asabye amawanga mu Great Lakes

Tayebwa asabye amawanga mu Great Lakes

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, asabye gavumenti z’amawanga agali mu great lakes region, okuteekawo enkola eyinza okuyamba mu kuyikuula eby’obugagga eby’omuttaka.

Thomas Tayebwa alaga nti mu kiseera kino abasima eby’obugagga eby’omu ttaka tebalina busobozi kunoonyereza ku by’obugagga eby’omu ttaka mu bitundu byabwe kyekusaba amawanga agali mu mukago okuwagira ebitongole ebiri mu mulimu guno ne byetaagisa.

Bwayabadde ayogerera mu lukiiko lwa palamenti z’amawanga agali mu great lakes region olwatudde mu Kampala, Tayebwa yagasseeko nti era kikulu okukola okunoonyereza nga tebannaba kuwa kkampuni layisinsi.

Mungeri yeemu Ssaabawandiisi wa Forum Onyango Kakoba agamba nti amawanga agali mu mukago galina okulaba ng’eby’obugagga eby’omu ttaka bisimwa mu mateeka, amawanga gasobole okufuna omusolo