Amawulire

Tayebwa asabye abakulembeze okuwandiika byebakoze abalala babayigireko

Tayebwa asabye abakulembeze okuwandiika byebakoze abalala babayigireko

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2022

No comments

Bya Nalwooga Juliet,

Amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa asabye abaaliko abakulembeze okuwandiika byebaayitamu mu bitabo olwo abakulembeze abato n’abagenda okujja basobole okubayigirako.

Bino abyogeredde mu kusabira omwoyo gwomugenzi Yona Kanyomozi okubadde ku kkanisa ya All Saints e Nakasero.

Okusaba kwetabiddwako abakulembeze b’ebyobufuzi abawerako okuli eyali pulezidenti wa UPC Miria Obote, ne Dr. Kizza Besigye owa FDC n’abalala.

Tayebwa agamba nti abakulembeze ab’oku ntikko beetaaga okuwandiika ku byebakoze, nga bannyonnyola engeri gye baaddukanyaamu obulungi ebifo byabwe olw’obulungi bw’eggwanga.

Bwabadde abuulira mu kusaba kuno omulabirizi Hannington Mutebi asoomozeza bannabyabufuzi okubeera mu bulamu obutabaweebula.

Ono ayogedde ku mugenzi ngómusajja ngomusajja abadde nembala era omugezi enyo era nga yayambako ne kanisa okufuna ekyappa ku ttaka lye Bugolobi.

Kanyomozi nga yaliko minisita w’obwegasi mu gavt ya Obote 11, yafudde kirwadde kya kokolo mu ddwaliro e Nakasero ku Sunday gyeyali agenze okumukeberako.

Omugenzi aziikibwa ku lwakutaano lwa ssabiiti eno e Rwashamaire ekisangibwa mu disitulikiti eye Ntungamo.

Mungeri yemu Miria Obote eyali mukyala eyali omuk weggwanga lino Milton Obote, asinzidde mu kusaba kuno nakunga abaliko bannakibiina kya  Uganda People’s Congress (UPC) okukomawo bakulakulanye ekibiina kyabwe.