Amawulire

Tayebwa akubiriza bayinginiya okukola n’obukugu

Tayebwa akubiriza bayinginiya okukola n’obukugu

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa asabye bayinginiya okussa obuyiiya n’obuvunaanyizibwa ku mirimu gyabwe.

Ono era awadde bammemba ba Uganda Institution of Professional Engineers (UIPE) amagezi okukola enteekateeka mwebanayita okulwanyisa obuli bw’enguzi, n’okukuuma omutindo mu mulimu gwabwe basobole okukola pulojekiti z’enkulaakulana.

Tayebwa era ayagala ba yinginiya baveeyo ne nkola eyokukendeeza kunsimbi empitirivu ezigendera mu kukola enguudo nokulwanyisa emirmu egyekibogwe egikolebwa ensangi zino.

Okwogera abadde mu lukungaana olukwata ku byatechnologia mu ggwanga olutegekebwa buli mwaka mu Kampala.